Amawulire

Kooti enywezezza ebibonerezo byabatta Omunyarwanda

Kooti enywezezza ebibonerezo byabatta Omunyarwanda

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3 banywezezza ebibonerezo okuli ekyemyaka 30 nemyaka 42 ebyaweebwa aboluganda abakira omukozi waabwe munnansi wa Rwanda nebamutta mu 2012.

Richard Bulega ne Lasto Tomusange wetwogerera nga bakola biboerezo ebyobusibe ebyabaweebwa.

Abalamuzi bagambye nti obujulizi obwaleteddwa bulaga nti bano ddala batta omugenzi.

Oludda oluwaabi lugamba nti Bulega yagenda e Mubende najjayo omugenzi eyaterekekako erya Kato, namuleeta e Kampala okukolera Tomusange wabula okuva olwo teyaddamu kulabika.

Oluvanyuma omulambo gwa Kato gwasangibwa ku luzzi nga gunvunda, ku kyalo Nsujjumpolwe mu distulikiti ye Mpigi.

Okumpi awo wasangibwawo ennyondo nekiti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *