Amawulire

Kkooti  egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi

Kkooti egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Kkooti ensukulumu egobye okwewozaako kwabannamateeka ba Mbabazi abategezezza nga okubibwa kw’ebiwandiiko byabwe mu ofiisi zaabwe ezamenyeddwa bwekibalemesezza okuwaayo obujulizi ku musango oguwakanya ebyava mu kulonda gwebaawaba.

File Photo: Ba looya ba mbabazi

File Photo: Ba looya ba mbabazi

Ssabalamuzi w’eggwanga  Bart Katureebe bano abalabudde obutekwasa kyakumenya ofiisi zaabwe nga baagala okwongerwayo obudde okunonya obujulizi.

Katureebe ategezezza nga bano bwebawtekayo omusango ku lunaku lwenyini olusembayo nga bawera nga bwebalina obujulizi bwonna obwetagisa kale nga kati teri kwekwasa.

Kkooti esazewo okuwulira omusango kugende mu maaso wabula bannamateeka nebabawamu akadde okuteesa kwebyo byebagenda okwesigamako nga bawoza.

Wabula omu ku bannamateeka ba Mbabazi Asuman Basalirwa ategezezza nga bwebalina obujulizi obumala era bakubuleeta.

 

Mbabazi y’awawabira pulezidenti Museveni, ssabawolereza wa gavumenti wamu n’akakiiko k’ebyokulonda.

Wabula pulezidenti Museveni akyakalambidde nga okulonda bwekwali okwamazima nga Mbaabzi by’ayogera tabilinako bukakafu.

Museveni yegaana eby’okukozesa amagye ga UPDF wamu ne poliisi okukwata Mbabazi n’abantu be okubalemesa okukuba kampeyini.

 

Abalamuzi 9 bebali mu mitambo gy’omusango guno nga bakulembeddwamu ssabalamuzi Bart Katureebe n’abalala okuli, Eldad Mwangusya Lillian Tibatemwa,Jotham Tumwesigye, Esther Kisaakye Mayambala, Stella Arach Amoko, Augustine Nshimye, Rubby Opio Aweri,ne  Faith Mwondha.