Amawulire

Kkereziya ekungubagidde Omsumba JB Kaggwa

Kkereziya ekungubagidde Omsumba JB Kaggwa

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2021

No comments

Kkereziya Katulika mu Uganda bakungubagidde, eyali omusumba we ssaza lye Masaka, eyawummula John Baptist Kaggwa.

Okusinziira ku Fr. Ronald Mayanja, akulira ebyamawulire mu ssaza lino agambye nti Bishop Kaggwa afudde kirwadde kyua ssenyiga omukwambwe Covid -19 akawungeezi ke ggulo.

Agambye nti ono abadde amegana nekirwadde kino okumala ebbanga, okutuusa olunnaku lwe ggulo Mukama lweyamujjuludde.

Bishop Kaggwa yawummula mu 2018 ku myaka 75, Bishop Severus Jjumba namuddira mu bigere, ngono yatuzibwa nga 6 July mu 2019.

Omugenzi ajjukirwa nnyo olwokulwanirira emneera zabantu, obwenkanya nenkulakulana.

Bwekyatukanga ku nsonga zebyobufuzi ngayogera neddoboozi eryomwanguka eriwulirwa.

Omwaka oguwedde Bishop Kaggwa yoomu ku baaali bawabudde gavumenti eyongezeeyo okulonda, kubanga abesimbyewo baali tebagenda kukirizibwa okukuba enkungaaana ezawamu okumatiza abalonzi, olwa ssenyiga omukambwe.

Mu busumba bwe, mu ssaza lye Masaka enkulakulana nnyingi eyatukibwako, okwali okuzimba amasomero amappya, amayumba gabapangisa, ennimiro namalundiro, waliwo ebizimbe ssemaduuka 2 ebyazimbibwa mu kibuga Masaka nebirala.

Essaza lino era lyatandikawo ne radio gyebatuuma Centenary FM.

Ebitonotono ebimukwatako:

Yazalibwa nga 22 March mu 1943 ku kyalo Bulenga mu distulikiti ye Wakiso.

Yaweebwa obusosolodooti nga 12 mu Decemba wa 1971.

Nga 24 June 1995, yakola ngomuyambi wa Bishop Adrian Kivumbi Ddungu, era Ddungu bweyamummula, Paapa namulonda ngomusumba oujjuvu owe Masaka.