Amawulire

Kkampuni ziggaddwa

Ali Mivule

November 17th, 2015

No comments

Minisitule y’ekikula ky’abantu yakaggala ofiisi 17 wano mu Kampala lwakugaana kugondera mateeka ga butebenkevu ku mirimu.

Etteeka likirambika bulungi nti ebifo bino birina okubaaka emiryango abantu webayinza okuddukira nga omuliro gukutte wamu n’abalema webalina okuyita.

Akulira ebikwekweto mu minisitule eno David Atwok, ategezezza nga bwebazze balabula bananyini bifo bino naye nga tebawulire.

Agamba okusinga tebabadde nabizikiza muliro nga n’abalema webayita tebalinawo.