Amawulire

Kidandala Yasisinkana Kayihura

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

Deputy lord mayor

Amyuka loodi meeya wa Kampala Sulaiman Kidandala akirizza nga bweyasisinkanamu ssabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kaihura e masindi .

Wabula yeesamulira ddala eby’okusaba ssente zonna okulwanyisa loodi meeya Erias Lukwago ng’obutambi bw’amaloboozi bwebugamba .

Agamba amaloboozi gano gajingiriddwa  n’ekigendererwa eky’okwonona erinya lye nga ye yali ayogera ku nsonga ndala  nyo ne Kayihura okuli embeera eri ku city hall so ssi kusaba nsimbi.

Kidandala agamba akyali nyo ku ludda lwa loodi meeya  Erias Lukwago n’asaba abantu obutesiga  butambi bwamaloboozi gano.

Mu katambi k’amaloboozi gano Kidandala wamu n’omusajja omulala atanategerekeka bawulirwa nga boogera ku mbeera eri ku kitebe kya Kampala ekya City hall, olwo omusajja atanategerekeka n’asaba ensimbi nti  ayambe okulongoosa embeera ku city hall.