Amawulire

KCCA esabye abebyokwerinda okukiriza abantu bagende bagemebwe

KCCA esabye abebyokwerinda okukiriza abantu bagende bagemebwe

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority, kirangiridde nti entekateeka z’okugema ssenyiga omukambwe bagenda kuzitwala mu bantu mu bitundu gyebawangaliira.

Bagambye nti entekateeka eno egenda kukolebwa wakati mu kugoberera amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Akulira ekitongole kya KCCA Dorothy Kisaka asabye ababeyokwerinda okukwata obulungi abantu, babaleke bagende mu bifo ebyatereddwao basobole okugemebwa.

Bino webijidde ngentambula yabanatu yasalwako, mu muggalo ogwe nnaku 42 ezalangiririrwa omukulembeze we’gwanga.

Kisaka bino abyogedde bwebabadde bakwasibwa enkata eyobutimba bwensiri 2000 okuva mu equity bank.

Obutimba buno bugenda kugabibwa eri abasubuzi abasula mu katale ka Owino.

Mungeri yeemu banka ezebyobusubuzi ezimu, bagamba nti bewaddeyo okuddamu okuteesa neba kasitoma baabwe ababanjibwa okukaanya ku nsasula, mu kiseera kino ekizbu ekymuggalo.

Ssenkulu wa Equity bank Anthony Kituuka agambye nti ekigendererwa kya banka kwekuwagira obulamu bwabantu bulongooke ssi kubagwa mu bulago.

Kino agambye nti kiri mu mateeka agabatwala wansi wa banka ye’gwanga enkulu okukaanya neba kasitoma, basasule mungeri esoboka bwebaba bafunyemu obuzibu.