Amawulire

Kawefube w’okulonda meeya omuggya atandise

Ali Mivule

November 27th, 2013

No comments

Lukwago 2

Akakiiko akakola ku by’okulonda katandise okukola ku by’okulonda kwa loodimeeya

Kiddiridde akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okubawandiikira ng’abetegeeza ng’ekifo kino bwekiri ekikalu

Omwogezi w’akakiiko akalondesa, Jotham Taremwa agamba nti etteeka libawa emyezi mukaaga okubeera nga bategese okulonda.

Bbo ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bagaala ba ofiisa ba poliisi abaatulugunya abantu ku bbalaza nga loodimeeya agobwa babonerezebebwe.

Ababaka Safia Nalule, Olive Koyekyenga, Jovah Kamateeka and Betty Nambooze bagamba nti aba ofiisa basusse webalina okukoma.

Kati akakiiko akakola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu kasazeewo okuyita senkaggale wa poliisi Gen Kale Kaihura okunyonyola ku nneeyisa ya basajja be.