Amawulire

Katumba asuubiziza abavubuka bé Rubaga emirimu

Katumba asuubiziza abavubuka bé Rubaga emirimu

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye

Eyesimbyewo ku bwannamunigina mu kuvuganya kuntebbe ey’omukulembeze w’eggwanga omwaka ogujja John Katumba, asuubiziza abavuzi ba bodaboda mu gombolola yé Rubaga okubafunira emirimu egitegerekeka singa anafuuka pulezidenti wa Uganda omwaka ogujja.

Bino abyogedde ayogerako nábawagizibe emisana ga leero mu katawuni ké Lugala ekisangibwa mu Rubaga division, Kampala district.

Katumba agambye nti Uganda obusobozi obusobozesa buli munnauganda okuba nomulimu ogweyagaza eburina wabula ekizibu kiva kyakukozesa bubi nsimbi za muwi wa musolo mu kugula tiyagaasi ne byokulwanyisa ebikozesebwa ku bavuganya songa sibyankizo mu ggwanga lino

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *