Amawulire

Katikkiro asiibye ku Palamenti- obukadde 150 bwebusondeddwa

Ali Mivule

November 19th, 2013

No comments

Katikkiro mayiga at Kasubi

Sipiika wa palamenti omukyala Rebecca Kadaga agamba nti musanyufu nti enkolagana wakati wa Buganda ne gavumenti buli lukya eyongera okutereera

Bino abyogedde asisinkanyeemu kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga akyaddeko ku palamenti olunaku lwaleero.

Ono agambye nti era musanyufu nti Kamalabyonna Mayiga ataddewo enkolagana ennungamu wakati wa palamenti n’obuganda ekitabangawo

Amusabye okwongera okukolerera obumu kubanga bwebwokka obugenda okutwala eggwanga mu maaso

Ababaka basonze obukadde obusoba mu 150 era nga yye Katikkiro agambye nti musanyufu nnyo nti ababaka bajjumbidde omulimu guno.

Bbo ababaka ba palamenti bagaala abakulembeze b’ennono beegatte mu lutalo lw’okutumbula eggwanga.

Omubaka we Buliisa Stephen Mukitale agamba nti gavumenti essaanye okwongera ku nsimbi z’essa  mu by’embeera z’abantu olwo n’abakulembeze bano bafune webatandikira

Yye omubaka, Betty Amongi  agamba nti abakulembeze b’ennono endala bandibadde balabira ku Nabagereka maama Nagginda ku ngeri gy’atumbuddemu omwana omuwala

Yye mubaka we Adjuman, Jesca Ababiku asabye abakulembeze b’ennono okutunuulira n’okutema empenda ez’okuyamba abaana abataliiko mwasirizi

Bino byonna bibadde mu kukubaganya ebirowoozo ku mulimu ogukoleddwa obuganda mu kukulakulanya Uganda