Amawulire

Katikiro Mayiga ajjaguza emyaka 8 nga akuuma Ddamula

Katikiro Mayiga ajjaguza emyaka 8 nga akuuma Ddamula

Ivan Ssenabulya

May 11th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti yenyumiriza nnyo mu kusitula n’okujjayo ekifananyi ky’obwakabaka mu myaka 8 gye yakamala nga akutte ddamula.

Katikkiro bino abyogedde ayogerako eri banamawulire ku mirimu egikoleddwa obwakabaka omwaka oguwedde 2020 nga akutte ddamula.

Katikkiro agambye nti omwaka oguwedde obwakabaka busomozeddwa nnyo COVID 19 naye musanyufu nti emirimu mu bwakabaka gyasigala gitambula wakati mu kusomozebwa okwamaanyi.

Katikkiro agambye nti mu myaka gino omunaana Obwakabaka buliko webutuuse mu kuzimba enkolagana n’obukulembeze obwensikikirano obulala wakati mu kuwanyisiganya amagezi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *