Amawulire

Katikiro akuutidde abakulembeze abalonde

Katikiro akuutidde abakulembeze abalonde

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye bannabyabufuzi ku mitendera egyenjawulo abaalondebwa mu kulonda kwa bonna okwa kakomekerezebwa, okwewala enjawukana wabula bafube okutambulira awamu batukirize obuvunanyibwa eri abantu ababalonze.

Katikkiro bino abyogedde asisinkanyemu abakulembeze abalonde aba district ye Kasanda, abakyaddeko embuga olwaleero okuwoza olutabaalo.

Mungeri yeemu Katikkiro asabye abakulembeze bano obutesulirayo gwanagamba wabula bafube okutukiriza obuvunanyizibwa obwabakwasidwa bagonjoole ebizibu ebiruma abantu.

Ssentebe omulonde owa district ye Kasanda, Kasirye Zimula Fred, abulidde katikkiro nti balina ebizibu binje ebisomooza Kasanda kyokka bakukolera wamu okujonjoola ebizibu ate nókuwangira emirimu gyóbwakabaka.

Abakulembeze bano era baguze certificate ya bukadde 2 mu ekitwalo 26 okuwagira emirimu gyóbwakabaka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *