Amawulire

Katemba- abavuganya bakaaye

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

Opposition Mps

Ekibinja ky’ababaka ab’oludda oluvuganya gavt balumbye woteri ya serena  president M7 gy’agenda okuweera obubaka bwe eri eggwanga.

Ababaka bano ekibajje mumbeera kyekyakulira oludda oluvuganya gavt Nathan Nandala Mafabi obutayitibwa ku mukolo guno ogwokwogerako eri eggwanga.

Nga bakulembeddwamu omubaka wa Alur,  Odonga Otto ababaka bano baweze nti sibakukkiriza babaka banaabwe kuyingira mu kisenge president gy’agenda okwogerera okutuusa ng’omukulembeze waabwe naye assiddwa ku lukalala lw’abagenyi abayite.

Otto ategeezezza ng’omukolo guno bweguli ogwegwanga nga tegulina kwefugibwa bakibiina abli mubuyinza aba NRM.

Oto ategeezezza ng’ekikolwa kino bwe kiri eky’obunyoomi n’okubayisaamu ag’engege.

Akulira poliisi mu Kampala, James Ruhweza atuuse ku Serena n’abaserikale abalala okuzza embeera mu nteeko.

Omwogezi wa Palamenti Helen Kawesa ategeezezza ng’eno bwe yabadde ensobi era ne yeetonda.

Agambye nti ensonga eno bagenda kugirongoosa amangu ddala nga bwekisoboka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *