Amawulire

Kasaija asabye ababaka bawagire omusolo omupya

Kasaija asabye ababaka bawagire omusolo omupya

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita webyensimbi Matia Kasaija asabye ababaka ba palamenti, okuwagira era bayise omusolo omuppya gavumenti gweyaleese.

Agambye nti omusolo guno gwagenderedde, okwongera ku ssente ezinavujirirra embalirira yomwaka gwebyensimbi ogujja 2021/22.

Bwabadde ayogerako naffe, awo ku palamenti Kasaija agembye nti era bagala kukendeeza ku kwewola, wbaula bongere ku makubo gensimbi okuva mu musolo.

Kasaija agambye nti ssinga omusolo guno teguyite, olwo bajja kusala ku mbalirrra ye gwanga.

Gavumenti esubira okusasanya obwesedde 41 nobuwumbi 200 wabulanga obwesedde 25 nobuwumbi 100 tzaakuva mu musolo, ezisigadde obwesedde 7 nekitundu zive e bweru we gwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *