Amawulire

Kaliisoliiso yeebale naye tekimatiza- Abalwanyisa enguzi

Ali Mivule

August 30th, 2014

No comments

Mulyagonja new

Kaliisoliiso wa gavumenti omukyala Irene Mulyagonja agamba nti olutalo ku nguzi terusaanye kuyingizibwaamu byabufuzi

Ng’awayaamu ne Dembe FM, Mulyagonja agambye nti wofiisi ye ye nnetegefu okunonyereza ku buli kika kya nguzi awatali kittira Muntu ku liiso kyokka nga tatuukirira

Agambye nti abantu bangi bamala googera nti kaliisoliiso atya abanene naye nga teri yali awaddeyo kwemulugunya mu butongole.

Bw’atuuse ku bakulu mu kitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA abawumuziddwa olw’okugayaalira emirimu gyaabwe ku nsonga z’oluguudo lwe Katosi Mukono, Mulyagonja agambye nti okunonyereza kukyagenda mu maaso

Asanguddewo n’ebigambibwa nti abanene abalese bayinayiina n’atuukira ku batono ng’agamba nti buli kimu kiba n’entandikwa

BBo nno abalwanyisa enguzi baanirizza ekya kaliisoliiso okuwemukira aba UNRA n’abawummuza kyokka nga bagaala aleme kukoma awo, awummuze n’abalala

Akulira ekitongole kya Anticoruuption coalition Uganda, Cissy Kagaba agamba nti buli mukono gw’ekyuuma lwegukwatako abamu, kireetawo okwemulugunya mu bantu ekitali kirungi