Amawulire

Kadaga atabuse

Ali Mivule

September 12th, 2013

No comments

Kadaga

Speaker wa parliament Rebeca alitwala Kadaaga ,avudde mu mbeera n’agaana ba minister bonna kko n’abakulira obukiiko bwa palamenti  okuddamu okumala gafuluma eggwanga.

Kino kivudde ku babaka bano kulemerera kukola alipoota ku  mbalirira  y’omwaka guno .

Sipiika Kadaga okuva mu mbeera kiddiridde ennaku mwebalina okuleetera alipoota zino  okugawako mu mwezi oguwedde , ssonga kuno kwebalina okwesigama nga baakaksa embalirira ey’omwaka .

Kadaga agamba nti ba minisita abatanaleeta alipoota zaabwe, baludde nga bajjukizibwa wabula nga babiyita byakubalaata , kale nga y’ensonga lwaki asazeewo okukambuwala.