Amawulire

Kadaga alagidde ku kiragiro kya Museveni

Kadaga alagidde ku kiragiro kya Museveni

Ivan Ssenabulya

October 3rd, 2019

No comments

Bya Moses Kyeyune ne Prossy Kisakye Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga Rebecca Kadaga  alagidde akakiiko ka palamenti kunsonga z’amateeka okuleeta ekiteeso mu palamenti ekigyawo omusango gwa kireleese mug gwanga.

Kino kiddiridde omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni okuvaayo nayisa ekiragiro eri Poliisi n’ebitongole ebirala okuta abo bonna abavunanibwa omusango gw’obwakirereese.

Pulezidenti yavudeyo nategeeza nti teri muntu alina ku kwatibwa bwa kirerese.

Kadaga okuvaayo okusaba bwati kiddiridde omubaka wa Kyaka south Jackson Kafuuzi okuvaayo nakileeta mu palamenti.

Mungeri yemu sipiika alagidde ssabawaabi wa gavumenti okulabikako eri palamenti okuleeta ekyukayuka zonna ezetagibwa mu ssemateeka ku tteeka lino.

Mungeri yemu Omumyuka wa kola nga akulira ekibuga Samuel Sserunkuma ategeezeza nga ekitongole kya KCCA bwekiri ekyetegeefu okussa mu nkola ekiragiro ky’omukulembezze  okusumulula abatembeyi bonna abali makomera abalemererwa okusasula engaasi ya kooti eyakakadde akamu.

Bino Sserunkuma abyogeredde mu lutuula lwa kanso  olukubirizidwa loodimeeya wa Kampala Elias Lukwago.

Sserunkuma akakasizza bakansala nti mu bbanga lya ssabiiti 2 bagenda okukwatagana n’ekitongole ekiramuzi okuyimbula abatembeeyi abakwatibwa n’okulaba abatandika okukola ebibonerezo byabwe bwe kinakwatibwamu.

Kunsonga eno Lukwago alagidde nti abaakwatibwa bonna badizibwe ebintu byabwe

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *