Amawulire

Gwebalumiriza obubbi awonye okutibwa

Gwebalumiriza obubbi awonye okutibwa

Ivan Ssenabulya

October 16th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Amasasi gatokose okukira akatogo ku kyalo Wandago B mu tawuni kanso ye Magamaga, mu district ye Mayuge poliisi bwebadde etaasa omusajja abatuuze gwebababdde bagala okugajambula, nga bamulumiriza obulogo.

Abatuuze okutabanguka babadde mu lukiiko olubadde lukubirizibwa omumyuka womubakanwa gavumenti e Mayuge Emma Mitala.

Abatuuze babadde bagala omusajja ono abaviire ku kyalo nga bamulumiriza nti yanadiba nga yeyaloze ne munaabwe natuuka okufa, wabula RDC abadde abasabye nti bakakane basooke banonyereze kyebagaanye okuwuliriza.

Kati poliisi eyitiddwa bukubirire nesobola okujjawo omusajja ono, wabulanga RDC avumiridde ebikolwa bino ebyokutwaliira amateeka mu ngalo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *