Amawulire

Gen Kaihura teyalabiseeko mu kooti

Gen Kaihura teyalabiseeko mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 12th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali ssabapoliis we gwanga Gen Kale Kayihura teyalabiseeko mu kooti yamagye gyabadde asubirwa ku misango gye egyokulemrerwa okukuuma ebyokulwanyisa, nebimalira mu mikono gyabantu babulijjo ate nokuwamba banansi ba Rwanda abanoonyi bobubudamu, okubazaayo.

Omusango gwa Kayihura gwaluddewo, okutukira ddala ku ssaawa 11 nekitundu okutuusa ssentebbe wa kooti yamagye Lt. Gen Andrew Gutti, lweyagwongezaayo.

Omuwaabi wemisango mu kooti yamagye Maj. Raphael Mugisha, agambye nti olunnaku olulala, lwakulangirirwa omuisango lwegunaddamu.

Kayihura nga yayimbulwa ku kakalu ka kooti avunanibwa wamu nabajaasi abaoku ntikko.

Ono kigambibwa nti yawanga akulira ekibinja kya Boda -Boda 2010, Abudallah Kitatta emmundu.

Abany-Rwanda abogerwako kuliko Joel Mutabazi, Jackson Kalemera ne Innocent Kalisa, ngemisango baajizza wakati womwaka gwa 2012 ne 2018.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *