Amawulire

Gavumenti ezizaako yintaneti

Gavumenti ezizaako yintaneti

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Gavumenti daaki etnadise okuzaako yintaneti, gyebajjako wiiki ewedde mu biseera byokulonda.

Kino gavumenti egamba nti kyakolebwa, okwewala amawulire agobulimba nokukuma omuliro mu bantu ebyali bisubirwa mu biseera byokulonda.

Wabula kino kikozesezza abantu bangi nokusanyalaza emirimu gyebitongole ebitali bimu.

Ssaawa nga 2 emabega, banna-Uganda bazeemu okugenda ku yintaneti wabulanga gyo emikutu muyunga bantu, gikyali miggale.

Kati ebimu omuntu byayinza okukozesa wetwogerera kuliko email, emikutu gyamawulire egitali gimu ne you-tube.

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo, mu gandaalo erya sabiiti yasubizza nti bagenda kuzaako yintaneti eno wabula mu mitendera.

Opondo era yagambye nti gavumenti yakuliwa eri emukutu gyempuliziganya abafiriddwa mu muggalo guno, ssinga banaleta obukakafu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *