Amawulire

Gavumenti eyisizza etteeka okulungamya omwenge

Gavumenti eyisizza etteeka okulungamya omwenge

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Olukiiko lwaba minister luyisizza etteeka erinayitwamu okulungamya enkozesa yomwenge nebyokunywa ebiralala ebitamiiza.

Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ku ssunsuliro lyamawlire ga gavumenti ku media centre, etteeka lino lilungamya engeri omwenge gyeguyinza okukolebwamu, okugusiba nokugunywa.

Muno era gavumenti egamba nti yakulwanyisa omwenge ogwobulabe eri obulamu bwabantu.

Mu kiwandiiko kino, era kitegezeddwa nga ba minister bwebayisizza olukiiko lwabapunta, olugenda okutulako abantu 8 nga lukubirizibwa Judy Rugasira.