Amawulire

Gavumenti etabukidde abasomesa

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

Jessica Alupo

Ministry ekola ku byenjigiriza mu ggwanga alagidde abakulira eby’enjigiriza mu district zonna okukola kyonna ekisoboka okulaba nti abasomesa bagenda mu bibiina.

 

Ekiwandiiko ekifulumiziddwa minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti abasomesa bonna balina okugenda okukola n’okubaawo okuyingiza abaana mu bibiina.

 

Alupo asabye abasomesa obutalekerera mirimu gyaabwe mu kaseera webasinga okwetaagibwa.

 

Olunaku lwajjo, abasomesa balangiridde ng’akeediimo kaabwe bwekatandise nga tebagenda kulinnya mu bibiina

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *