Amawulire

Gavumenti esabiddwa etondewo obukiiko bwe’byalo obutangira ebibamba

Gavumenti esabiddwa etondewo obukiiko bwe’byalo obutangira ebibamba

Ivan Ssenabulya

May 7th, 2021

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ebitongole byobwanakyewa bizeemu okulaga obwetaavu gavumenti okutondawo obukiiko, ku byalo obuvunayizbwa ku kulwanyisa ebibamba nebigwa tebiraze.

Obukiiko buno bagamba nti bujja kusomesa abantu nokubawa obusobozi okwetangira ebigwa tebiraze.

Banokodeyo ebitundu ebitera okugwamu ebibamba okuli disitulikiti ye Kabale, Kabarole, ekitundu kya Bugisu ne disitulikiti ya Bundibugyo.

Akulira Oxfam mu Uganda, Francis Odokoroch agambye nti abatuuze mu bitundu byabwe era bakuwagira emirimu gya gavumenti gyonna egirubiridde okutangira ebibamba.

Okwogera bino, yasinzidde ku mukolo bwebabadde batongoza polojekiti gyebatuumye Empowering Local and National Humanitarian Actors (ELNHA) erubiridde okuwa abantu babulijjo omuzinzi nokwonger amaanyi mu mirimu gyobuddukirize.