Amawulire

Gavumenti erabudde ku bwegugungo obwa 3 Febwali

Gavumenti erabudde ku bwegugungo obwa 3 Febwali

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Gavumenti erabudde bann-Uganda abatekateeka okugenda mu muggalo, wakati wennaku zomwezi 3 ne 7 February 2021, nga bawakanya okulolendebwa kwa Yoweri Museveni, nga bangi balumiriza nti okulonda kwalimu okubba okutabangawo.      

Bino webijidde ngamwulire gano gagenze gasasana ku mikutu muyunga bantu, nokusaba abantu bonna basigale awaka mu mirembe wabula nokulabula eri abo abanajja ku nguudo nokukola nti ekibatukangako tebanenya omuntu yenna.

Wabula minisita webyamawulire nokulungamya egwanga Judith Nabakooba alabudde nti gavumenti aneyo amwulire ago yagafunye dda era abebyokwerinda betegese okukwata bonna abanagezaako okutabangula abantu abekolera emirimu gyabwe okuli abamaduuka, taxi nabalala.

Akakasizza obukuumi eri abantu bonna, awatali agenda kubatataganya.