Amawulire

Gavt etongoza enkola ennerungamya amakolero

Gavt etongoza enkola ennerungamya amakolero

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Minisita webyobusubuzi, amakolero nobwegassi, Amelia Kyambadde alaze obwetaavu okwongera okulongoosa ebyamakolero mu Uganda ne Africa awamu.

Okwogera bino asinzidde ku mukolo kwe batongolezza, enkola enelungamya ebyamakolero eya National Industrial policy and strategic plan ngagambye nti waliwo n’obwetaavu bannansi okukyusa endowooza yaabwe ku byamakolero.

Agambye nti bangi balowooza nti abagwira bebayinza okufuuka ba musiga nsimbi, nokutandikawo amakolero, songa ne bannansi bakisobola okutandikawo emirimu.

Ebibalo biraga nti ebyamakolero byagatta ku byenfuna n’obugagga bweggwanga oba GDP 27.1% omwaka 2018/19 wegwatukira.

Wabula kisubirw anti waja kuberawo okweyongera okudda ku 31.7%, omwaka gwebyensimbi 2029/2030 wegunatukira.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *