Amawulire
Gavt esabiddwa okugya amaggye ga uganda e Somalia
Bya Rita Kemigisa,
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alagidde minisita owensonga ezomunda mu ggwanga okuvaayo ku lwokubiri lwa ssabiiti ejja atangaze eggwanga kunsonga ya maggye ga Uganda agali mu Somalia.
Kino kidiridde omubaka wa Obongi county Kaps Fungaroo okutegeeza palamenti nti embeera eri mu Somalia sinyangu mu kiseera kino oluvanyuma lwa maggye agawagira aboludda oluvuganya okugulawo olutalo naga gavumenti.
Okusinzira ku mubaka Fungaroo, eggwanga lya America lyagyeyodda amaggye agaabwe kale nga ne Uganda esaanye erowooze ku bajaasi baayo ngembeera tenasajuka.