Amawulire

Gaumenti eyagala mikutu gya bwannanyini

Ali Mivule

October 24th, 2013

No comments

Radio masts

Gavumenti ezze na nkuba mpya ng’eyagala kukozesa mikutu gy’amawulire egy’obwannayini okwogerako eri abantu

Minister akola ku by’amawulire, Rose Namayanja agamba nti bagala okufuna essaawa nnya ku buli mukutu gwa TV oba Radio buli mwezi okutegeeza abantu ky’eba bakolako

Kino bagala kukikola ku bwereere.

Namayanja gaamba nti mu nteekateeka y’ebyempuliziganya gyebalina bakusindikanga abantu baabwe ku mikutu gino babasomese abantu n’okubategeeza ebigenda mu maaso

Wabula yye amyuka akulira ekibiina ekigatta abaddukanya TV ne Radio Kin Kaliisa agaanye okwetema ku kino ng’agamba nti bakwongera okukikubaganyaako ebirowoozo

Yye akulira akakiiko akalondoola ebigenda ku mpewo, Godfrey Mutabaazi asabye emikutu gy’amawulire okugoberera amateeka agatwala emikutu gy’amawulire

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *