Amawulire

FDC etadde akakiiko kébyókulonda kunninga

FDC etadde akakiiko kébyókulonda kunninga

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ekibiina kya FDC kitadde akakiiko ke byokulonda kunninga kanyonyole byebesigamako okusazaamu kampeyini mu disitulikiti 13

Kino kidiridde akakiiko okuwera enkungana ze byobufuzi mu disitulikiti Kampala, Wakiso, Greater Mukono, Jinja City, Masaka and Kalungu nendala ku bigambibwa nti zirimu nyo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwe nsisinkano gye babaddemu nákakiiko ke byokulonda, ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija yebuuziza lwaki disitulikiti nga Kalungu eyalina omulwadde wa covid omu nayo yawerwamu kampeyini

Kati ayagala minisitule eye byobulamu eyitibwe akakiiko ebatangaze lwaki Kalungu yatekebwa ku lukalala.