Amawulire

Famire bbiri zikayanidde omwana

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Katemba alabiddwako ku poliisi e Mukono, famire bbiri bwezilwanidde omwana ow’emyaka 10 nga buli omu agamba nti yamulinako obuvunayizimbwa.

Omwana akayanirwa ategerekese nga Nulu Nabateregga nga nyina yafa wabula namulekera e bukojja kyokka nga mu kiseera kino aba famire ya Kitawe bagamba nti bano bakayanira, omwana gwebaludde nga tebamulabirira.

Okusinzira ku Ibrahim Kateregga taata w’omwana ono abe bukojja omwana babba mubbe, wabula bali byebegaana.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *