Amawulire

Eyatta bba n’abaana asibiddwa mayisa

Eyatta bba n’abaana asibiddwa mayisa

Ali Mivule

November 12th, 2015

No comments

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

File Photo: Kooti Enkulu eya Uganda

Omukyala eyatta bba n’abaana bweyateekera enju mwebali omuliro asibiddwa mayisa.

Edith Kayaga yafuna amafuta ga genereeta n’aggalira bba n’abaana mu nyumba olwo n’abakumako omuliro

Ono yatta bba Ismail Kawooya n’abaana be okuli Shakira Nakubulwa ne Saidah Namale.

Omulamuzi aguli mu mitambo Masalu Musene agambye nti okusingisa omukyala ono omusango yesigamye ku bujulizi obwabaweebwa omwana eyalama Akram Ssebunya.

Omwana ono yataasibwa ba muliraanwa abawulira amangu.

Ng’asalira omukazi ono ekibonerezo, omulamuzi Musene agambye nti kikyaamu okutta abantu n’asigala ng’alya butaala nga y’ensonga lwaki omukazi ono amusibye obulamu bwe bwonna.

Ebisaliddwaawo kkooti birese ab’oluganda lw’abagenzi bajaganya nga bagamba nti amazima geeyolese