Amawulire

Eyasobya ku mwana wa mukamaawe akaligiddwa.

Eyasobya ku mwana wa mukamaawe akaligiddwa.

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah

 

 

 

Waliwo omukuumi  waawaka  asimbiddwa  mu  kkooti  enkulu  mu  Kampala naasingisibwa  omusango  gw’okusobya  ku  mwana  wa  mukama  we  ate ng’alina  akawuka  akaleeta  mukenenya.

Ochan Mathew asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo namusingisa omusango oluvanyuma  lw’okwekenenya obujulizi obwaletebwa oludda oluwaabi nakizuula nti ddala kituufu omwana yatusibwako ogwa buliisa manyi.

Omwana eyasobezebwako yali wa myaka ettaano gyoka  era nga kiteberezebwa nti yasiigibwa akawuka akaleeta mukenenya.

Omusango yaguzza mu mwaka gwa 2015 wano mu Kampala, era nga omulamuzi agenda kuba amuwa ekibonerezo kye essawa yonna  olunaku lwaleero.