Amawulire

Eyasobya ku mwana ow’emyaka 4 asindikibwa e Luzira

Eyasobya ku mwana ow’emyaka 4 asindikibwa e Luzira

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Omusajja ow’emyaka 30 asindikiddwa mu kkooti enkulu atandike okuwerenemba n’omusango gw’okusobya ku mwana ow’emyaka 4 gyoka ng’amuyita mu kamwa.

Kino kidiridde Ssabawaabi wa Government Mike Chibita okuwereza ekiwandiko ekiraga nti okunonyereza kwa police mu musango guno kuwedde.

Kabenge Saadi omutuuze we Kirinya Bukasa, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Joan Aciro amusindise mu kkomera e Luzira atandike okuwozesebwa.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Mpumwire Carolyne lugamba nti nga May 2nd 2019 ku kyaalo Bukasa mu gombolola ye Kira mu wakiso Kabenge yasobya ku mwana omuwala ow’emyaka etaano.

Kati adizidwayo mu kkomera okutuusa kkooti enkulu lwerimuyita.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *