Amawulire

Eyaliisa omwana omusaayi bamusibye emyaka 2

Eyaliisa omwana omusaayi bamusibye emyaka 2

Ivan Ssenabulya

September 27th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti e Mukono Patience Koburunga asindise Namata Annet mu kkomera yebakeyo emyaka 2, olwokuliisa omwana wa bba omusaayi ngali mu nsonga.

Omuwaabi wa gavumenti Irene Namboozo, yategeezezza kooti nti omuvunanwa omukwasi wa nsenene nga mutuuze ku kyalo Kitega mu munispaali ye Mukono, ngomusango yaguzza nga 6/6/2019.

Ono yakakana ku mwana wa bba Yunusu Lukungu ow’emyaka 13, namuliisa akakanja natuuka nokumuwa omusaayi, oluvanyuma lwokufunamu obutakanya ne bbaawe.

Namata yakirizza omusango oluvanyuma lwokulaba abajaulizi boludda oluwaabi, ababadde baleteddwa okumulumiriza.

Omulamuzi agambye nti yabadde agwana okusibwa emyaka
7 naye amusaliddeko, olwokuba teyayonoonye budde bwa kooti.

Wabula taata w’omwana nabatuuze tebamatidde ne nnamula eno.