Amawulire

Eyali Akbar Godi guzzeemu okumusinga

Ali Mivule

July 26th, 2013

No comments

Akbar Godi

Kooti ejulirwamu egobye okusaba kweyali omubaka wa Arua Akbar Godi kweyawayo nga awakanya ekyokumusalira emyaka 25 olwokusingisibwa ogwokutta mukyala we Rehma Ceasar.

 

Abalamuzi ba kooti abasatu bategezezza nga nga obujilizi obwaweebwa kooti ye mukono obulumika Godi bumalira ddala okumusingisa omusango guno.

Bano besigamye ku bujulizi obwawebwa muganda w’omugenzi nga kwogasse ne maama we bwebategeeza nga Godi bweyatiisatiisanga omugenzi entakera.

 

.n’emotoka ya Godi eyekika kya  Toyota Rav 4 yalabibwako awaali obutemu buno nga kwogasse nebisosonkole by’amasasi ebifanagana namasasi g’emundu ye.

 

Abalamuzi era bakakasizza nga ebisooto ebyasangibwa ku ngato za Godi bwebyali bifananira ddala ebyo ebyali awali obutemu buno.

 

Godi yasibwa emyaka  25 mu mwaka gwa  2011 oluvanyuma lwa kooti enkulu e mukono okufuna obukakafu obumala nti ddala yatemula mukyalawe  Rehema Caesar.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *