Amawulire

Ettemu Entebbe: Owa Mobile Money Bamukubye Amasasi

Ettemu Entebbe: Owa Mobile Money Bamukubye Amasasi

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi Entebbe etandise okunonyereza ku butemu obukoleddwa ku mukazi owemyaka 30 Nambi Bogiya, omukozi ku Mobile Money e Nalugala.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti obutemu buno bwabadde akawungeezi akayise, kinnya na mpindi ne nnyumba wabadde apangisa e Nalugala mu tawuni kanso ye Katabi.

Kigambibw anti ono ba kkondo bamulondodde okuva wakolera, okutuuka mu kifo kino webmukubidde amasasai, nga bakuliise nensimbi ezitamanyikiddwa muwendo.

Poliisi ejjeeyo omulambo negutwalibwa mu gwanika lye ddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejebwa, nga nokunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *