Amawulire

Ettaka lyakuddamu okubumbulukuka

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

land slides

Oluvanyuma lw’enjatika okuddamu okweyolekera mu lusozi lwa Elgon, abakugu balabudde gavumenti okusitukiramu  nga ettaka terinaddamu kubumbulukuka.

Omubaka wa Bungokho South Michael Werikhe y’arabudde nga gavumenti bw’esaana okusengula abantu abali mu bitundu bino okulaba nga ettaka lino teribabikka.

Agamba abantu abasoba mu kakadde akalamba bebayinza okukoseba singa ettaka liddamu okubumbulukuka.

Wiiki ewedde minisitule y’ebigwa tebiraze yategeeza nga bweyali efunye yiika z’ettaka ezisoba mu 2000 e Bulambuli kwegenda okusenza abantu bano wabula abamu nga bagamba nti gyebabazza ate embeera mbi nnyo okusinga gyebali.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *