Amawulire

Entekateeka yokulondwa kwa 2021 efulumye.

Entekateeka yokulondwa kwa 2021 efulumye.

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Akakiiko k’ebyokulonda olunaku olwaleero kafulumizza, olukangaga olulambika byebagenda okugoberera mu kutekateeka okulonda okwabonna okwa 2021.

Bwabadde afulumya entekateeka eno, akola ku by’emirimo mu kakiiko kano Leonard Mulekwah  agambye nti okulonda kuno kwakubaawo nga 9th February , era nga abakulembeze 1.5 million bebagenda okulondebwa ku mitendera egy’enjawulo.

Okusinziira ku ntekateeka eno okunsulamu abagenda okuvuganya ku mutendera gwa government ez’ebitundu kwakubaawo July 20th okutuusa nga 24th 2020, ababaka ba parliament bakunsunsulibwa okuva nga August 12th okutuusa nga  August 13th , songa bbo abaagala obwa president bakukolwako okuva nga August 20-2020 okutusa nga  21st 2021.

Kakuyege  wabavuganya kubwa president wakutandika mu September 2 okutuusa January 9th 2021, ababaka ba parliament  bakuwenja akalulu okuva nga 16th August   okutusa mu January 9th 2021 , songa kwo okulonda kwakubaawo nga February 9th 2021.