Amawulire

Enteekateeka ku mazaalibwa góMutanda ziwedde

Enteekateeka ku mazaalibwa góMutanda ziwedde

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza enteekateeka entongole egenda okugobererwa olunaku olw’enkya mu kukuza amazalibwa g’omutanda mu Lubiri e Mengo ag’emyaka 66.

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka emikolo gya mazalibwa gano era nga ye minister w’ebyobulamu, ebyenjigiriza, office ya maama Nabagereka n’ekikula kya bantu, Owek Prosperous Nankindu Kavuma, agambye nti emikolo gya kutandika kusaawa 4 ez’okumakya era gyakubaako okutuusa obubaka obwenjawulo ku bulwadde bwa mukenenya.

Hajji Hamis Kakomo minister omubeezi ow’ebyobulimi n’obulunzi era amyuka ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amazalibwa gano, agambye nti emikolo gino gigenda kuberako abantu batono ddala abo abaweredwa ebbaluwa, ate abasigadde emikolo gino bakugigoberera ku mikutu gya mawulire.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *