Amawulire

Ennyonyi ya Uganda kika kya Airbus A330 Neo etuuse

Ennyonyi ya Uganda kika kya Airbus A330 Neo etuuse

Ivan Ssenabulya

December 22nd, 2020

No comments

Bya Ritah kemigisa

Ennyonyi kika kya Airbus A330 neo esoose, eyaguliddwa Uganda, etonnye kulya Buganda.

Ennyonyi eno etuuse ku ssaawa 5 ne dakiika ezigwamu, ngakulira abagoba be nnyonyi za Uganda Airline Cpt Michael Etiang yabadde ajibonga okujituusa wano okuva mu France.

Kati abagenyi batono abayitiddwa okwetaba mu mukolo ogwokujaniriza, ngomukulembeze we gwanga ye mugenyi omukulu.

cMichael Etiang mu kusooka bwebabadde blastula okuva e France yategenderezza pulezidenti Museveni olwekyakolebwa okuzukusa kampuni ye gwanga eye nnyonyi.

Airbus eyokubiri yyo esubirwa mu January omwaka ogujja, ngenyonyi zino zezigenda okusabaza abantu okubatwala mu bibuga ebinene okuli Dubai, London, Guangzhou, Mumbai nebiralala mu Maserengeta ga Africa Nobugwanjuba.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *