Amawulire
Emikolo gya Bulungi Bwansi gyakubeera Busiro
Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okukuliza emikolo gya Bulungibwansi n’olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu mu ssaza ly’e Busiro egy’omwaka gwa 2020.
Kino kiddiridde essaza lino okunywa mu malala akendo mu nzirukanya n’entambuza y’emirimu bubonero 65%.
Omumyuka wa Katikkiro owokubiri, nga ye muwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yalangiridde kino bweyabadde awa ebyavudde mu alipoota eyakoleddwa olukiiko okuva mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu e Mmengo olumaze ekiseera nga lutalaaga amasaza okulaba emirimu bwegitambula.
Busiro yeyasinze amasaza amalala 17 mu kuvuganya kuno.
Kyadondo yakutte kyakubiri n’obuboinero 63%, Kyaggwe 61%, Butambala 58%, namalala.
Ate amasasaza agasinze okukola obuli kuliko Ssese 14.5%, Buvuma 10%, atenga Buweekula yafunye 9%.