Amawulire

Embizi eridde omwana omuwere owo’mwezi

Embizi eridde omwana omuwere owo’mwezi

Ivan Ssenabulya

July 5th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kateera mu gombolola ye Ddwaniro mu distulikiti ye Rakai, embizzi bweridde omwana omuwere owomwezi gumu abadde yalekeddwa mu nnyumba.

Kigambibwa nti maama womwana ono ategerekese nga Peace Tukwasibwe ybadde alese omwana ono nagenda mu lusuku lwamatooke.

Kati abatuuze basigadde mu kwewunaganya, bagambye nti kino babadde tebakirabangako.

Kitegezeddwa nti embizzi yamulidde omutwe nemikono, nebwebwena nolubuto, bweyamaze okukutta nebwama ku mufaliso kwennyini omwana kweyabadde.

Ssentebbe we’kyalo kino Charles Mwanje agambye nti abatuuze mu bukambwe bakakanye ku mbizzi eno nebakikuba nebajitta, nga balumiriza nti yandiberamu nebyokoola

Wabula abatuuze abasabye nti bafeeyo nnyo okukuuma abaaana baabwe naddala abato.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *