Amawulire

Embeera teyerarikiriza

Ali Mivule

August 23rd, 2013

No comments

Crimean fever

Ministry y’ebyobulamu egamba nti yakulangirira ng’eggwnaga bweriweddemu ekirwadde ekyefananyirizaako ekya Ebola ekimanyiddwa Congo Crimean hemorrhagic fever.

OMuwandiisi ow’enkalakkalira mu ministry y’ebyobulamu Dr Asuman Lukwago agamba nti kino bajja kukikola ssinga tewabaawo Muntu yenna addamu kufuna kirwadde kino.

Omuntu omu yeeyakafa ekirwadde kino ate omulala akyajjanjabibwa mu ddwaliro lye Kalongo

Ono wabula asabye abantu okwewala okukwata mulala mu ngalo owkewala okubunya ekirwadde kino

Ekirwadde kino kisasanyizibwa nkwa ey’omu nsiko ng’eno esooka kukwata nsolo za waka olwo nazo nezisiiga abantu

Obumu ku bubonero obulaga ekirwadde kino mulim omutwe, omusujja, omugongo, okulumw amu nyingo

N’okuva omusaayi mu bitundu by’omubiri ebitali bimu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *