Amawulire

Embalirira ya KCCA ejulidde

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

 Musisi

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwapulezidenti bongezezzayo okuteesa ku mbalirira y’ekitongole kya KCCA.

Kiddiridde  akulira abakozi mu KCCA Jennifer Musisi okulabikako maaso g’akakiiko kano awatali ba meeya ba zi division etaano ezikola  kampala.

Ababaka okuli Latif Ssebaggala bagamba nti abakulembeze ba Kampala bonna balina okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ku mbalirira eno okusobola okutambula obulungi emirimu.

Bano basazeewo nti bakuteesa ku mbalirira eno nga bonna bekikwatako webali.