Amawulire

Ekyo’kuleeta ababundabunda okuva mu Yisirayiri kyaniriziddwa

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Entekateeka ya gavumenti okwaniriza ababundabunda abali mu 500 abagobeddwa okuva mu gwanga lya Israel kyaniriziddwa abatunulizi mu nsonga zenkolagana namawanga.

Bweyabadde ayogera ne banamwulire ku media centre wiiki ewedde, minister omubeezi owebibamba nebigwa tebiraze Musa Ecweru yakaksizza nti Isreal yabasabye okubayamba ku banansi ba Eritrea ne South Sudan abasoba mu 500.

Wabula kino kireseewo okwemulugunya mu banatu abamu nti gavumenti yanadiba nga erina ekigendererwa ekikusike mu ntekateeka eno.

Bwabadde ayogerako naffe Amb. Harold Acema mu kwogera ku kino, agambye nti kirungi era kyakuyamba.

Wabula agamba kino kyandikosa ku mbeera yebyenfuna, ngasabye abakwatibwako ngekibiina kyamawanga amagatte  okuyamabako.