Amawulire

Ekiwamba Bantu: Kadaga alagidde Jeje Odongo okuleeta

Ekiwamba Bantu: Kadaga alagidde Jeje Odongo okuleeta

Ivan Ssenabulya

February 25th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Minisita owensonga zomunda mu gwanga Jeje Odongo asubirwa olwaleero, okulaga palamenti olukalala lwabantu abazze bawambibwa nokubuzibwawo, okuviira ddala mu biseera byokulomnda.

Omkubiriza w palamenti Rebecca Kadaga olunnaku lwe ggulo yalagidde minisita okufulumya olukalaa luno, nategeeza nbti obutakikola kitadde ku bunkenke abantu, naddala abenganda zabantu abatamanyikiddwako mayitire, atenga kityoboola ne ddembe lyobuntu.

Kino kyadirirdde omubaka wa Kawempe North Latiff Ssebagala okutuusa okwemulugunya eri palamenti ku nsomnga eno.

Wabula kinajjukirwa nti ebbanga liyiseewo, okuva omukulembeze w egwanga lweyalagira nti olukalala lwabantu abakwatibwa lulagibwe.

Wabula minisita omubeezi owebyokwerinda bye gwanga, avunayzibwa ku bazirwanako Adolf Mwesige yegaanye ebyogerwa nti alina kyamanyi ku lukalala lwabantu abazze bawambibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *