Amawulire

Ebyókwerinda binywezedwa mu Kampala ne Miriraano kulwémikolo gyókulayira

Ebyókwerinda binywezedwa mu Kampala ne Miriraano kulwémikolo gyókulayira

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ebyokwerinda binywezedwa mu bitundu bya Kampala ne miriraano mu kwetegekera okulayira kwomukulembeze weggwanga olunaku olwokusatu.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kisaawe e Kololo awagenda okuba emikolo egyokulayira, omwogezi w’amaggye Brig Gen Flavia Byekwaso, agambye nti ebyokwerinda okunywezebwa kigenderedwamu okuwa obukuumi abakulembeze ba mawanga nabebitiibwa abalala abagenda okwetaba ku mikolo.

Ono mungeri yemu azzeemu okukiggumiza nti tewali kiwayi kya bamenyi ba mateeka ekigenda okutataganya mikolo gyakulayira nga bwebizze byogerebwa.

Byekwaso ategezeza nga nomuwendo gwa basirikale abagenda okuba ku paleedi bwegugenda okukendeera ne kigendererwa ekyokugoberera ebiragiro ebitangira okusasaana kwe kirwadde kya covid-19

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *