Amawulire

Ebyetaagisa byonna mu kulonda kwenkya bituuse ku zi-disitulikiti

Ebyetaagisa byonna mu kulonda kwenkya bituuse ku zi-disitulikiti

Ivan Ssenabulya

January 13th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Rita Kemigisa

AKakiiko ke byokulonda kakakasiza nga ebikozesebwa byonna mu kulonda kwólunaku lwenkya bwebimaze okutuuka ku zi disitulikiti

Bino byogeddwa sentebe wa kakiiko ke byokulonda Simon Byabakama bwabadde ayogerako ne bannamawulire eku kisaawe e kyambogo awagenda okugatirwa ebivudde mu kulonda
Byabakama agambye nti basazewo okwanguya ebintu bino okwewala okuletawo okutataganyizibwa ebikozeseba mu kutuuka awalonderwa

Ono atangaziza nti bannauganda bakulondera mu bifo 34,684 okuva mu disitulikiti 146 songa abalonzi bali 18.1M.

Mungeri yemu Gavt erangiridde olunaku lwenkya nolwokutaano nge nnaku ezokuwumulirako wonna mu ggwanga

Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizidwa omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule evunanyizibwa ku nsonga za bakozi ba gavt Catherine Bitara-kwate, ennaku zino 2 zawuddwa kisobozese buli muntu okukuba kalulu