Amawulire

Ebya Sejusa tebinnaba kuteeerera

Ali Mivule

October 1st, 2013

No comments

Sejusa hunted

Akakakiiko ka palamenti akakola ku mateeka agatwaala palamenti n’okukwasisa empisa  kalagide bannamateeka ba Gen David Sejusa  okuleeta obujulizi okulaga nti omuntu waabwe obulamu bwe bbuli mu katyabaga ssinga amala n’adda mu ggwanga.

Bino bituukiddwako olwalweero bannamateeka be okuli Fred Mukasa Mbidde ne Joseph Luzige bwebabadde balabiseeko mu maaso g’akakiiko kano okuwolereza omuntu waabwe kaakano ali e Bungereza.

Bano bategeezeza akakiiko nti bwekaba kaagala okwogeraganya mu buntu ne Ssejusa  basaana bakozese  enkola ya tekinologiya endala gamba nga enkola eya skype kubanga tebasobola kumuleeta mu kakiiko kano mu buntu.

ssentebe w’akakiiko kano Fox Odoi  alagidde bannamateeka bano okudda ku lw’okubiri nga balina obukakafu obumala era nga mu ngeri yeemu bannamateeka bano balina okuleeta ebbaluwa okuva eri Sejusa ng’eraga nti y’abatumye.

Ye minister omubeezi ow’ebyokwerinda Jeje Odong asabye palamenti erangirire ekifo kya Sejusa nti kikalu kubanga emirimu gimulemye

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *