Amawulire

Ebola nate akaksiddwa e Kasese

Ebola nate akaksiddwa e Kasese

Ivan Ssenabulya

August 30th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ministry yeby’obulamu ekakakasizza okubalukawo kwekirwadde kya Ebola nate mu district ye Kasese.

Ebola yakakasiddwa mu kabuga ke Bwera mu district ye Kasese, mu Bugwanjuba bwe gwanga.

Minister omubeezi ow’ebyobulamu Dr. Joyce Moriku Kaducu agambye nti bakakasizza omwana ow’emyaka 9 omuwala, ngalina ekirwadde kino.

Omwana ono kigambibwa nti yava mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo nga yayingidde muno ne maama we nga 28 August, 2019.

Bano kigambibwa nti baayise ku nsalo e Mpondwe nebagenda e Bwera, okufuna obujanjabi, oluvanyuma lwobulwadde okubeyongera.

Guno mulundi gwa kubiri Ebola okukaksibwa mu gwanga, mu bbanga erya myezi 3 nga mu mwezi gwomukaaga, waliwo abantu 2 abafa oluvanyuma lwoukaksibwa okubeera nekirwadde kino.

Bano nabo baali baava mu Congo okuyingira kuno.