Amawulire

Ebiragiro bya COVID-19 bagenda kubifuula tteeka

Ebiragiro bya COVID-19 bagenda kubifuula tteeka

Ivan Ssenabulya

June 23rd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Gavumenti eri mu ntekateeka okuddamu okulongoosa mu mbalirirra ye’gwanga eya 2021/22.

Gavumenti eyagala kubaako ebimu byeyatekamu ssente, bazisale okuziteeka mu biraala ebinayamba bann-Uganda okubataasa ku muggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Bino webijidde nga gavumenti yalangirirdde omuggalo gwa nnaku 42, omwajidde ebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Ku mukolo gwokuwaayo wofiisi, abadde minisista avunayizbwa ku kutegekera egwanga David Bahati ne Gabriel Adjedra eri Amos Lugoloobi ne Henry Musasizi ababadidde mu bigere, minisita webyensimbi Matia Kasaija agambye nti basazeewo kino babereko engeri endala gyebayambamu abantu babulijjo naddala abali obubi.

Agambye nti kati bagenda kweyambisa amawulire gebajja okufuna okuva mu bakulembeze bebayalo, ku mbeera yabanatu abenjawulo

Wiiki eno, Ssabaminista we’gwanga Robinah Nabbanja yalangiridde nti gavumenti egenda kubaako obuyambi bwensimbi zebatuusa ku masimu gaabwe okwedabulula, bafune kyebalya.

Ate minisitule yebyensimbi etegezezza nga bwebasabye minisitule yebyobulamu, okulwata ekiteeso mu lukiiko lwaba minisita ebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, okulifuula etteeka.

Bagala bigatibwe mu tteeka lya Public Health Act.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire, akolanga omuwandiisi wenkalakkalira mu minisitule yebyensimbi Patrick Ocailap agambye nti kino kyakanyizddwako mu lukiiko lwebabaddemu.

Ocailap, kino akyogeredde ku mukolo ogwokuwaayo zzi wofiisi eri ba minisita bebyensimbi abajja.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *