Amawulire

Ebintu bya Were babikumyeko omuliro

Ebintu bya Were babikumyeko omuliro

Ivan Ssenabulya

October 30th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Steohn Mbidde

Abayizi ku ttendekero lye Makerere balumbye ekisulo kyeyali omukulu wabayizi, nebajjayo obuntu bwe nebabutekera omuliro.

Papa Were Salim munnakibiina kya FDC betekedde obuntu bwe okubadde TV, omufaliso ebifananyi nebiralala omuliro nga bamulumiriza okubeera omuli wenkwe.

Abayizi bano era basobodde okufuluma ettendekero, nga babadde baliko sanduuko yabafu gyebakutte nebolekera mu Kikoni.

Enyongeza eyebitundu 15% abayizi gyebawakanya yayisibwa olukiiko olwokuntikko olwa university council nga bawagirwa obukulembeze bwabaayizi wansi wa Papa Were.

Mu kusooka poliisi ekubye omukka ogubalagala namasasi mu bbanga, okulemesa olukungaana olwabadde lutegekeddwa mu kibangirizi kya Freedom Square.

Mungeri yeemu nomukulu wabayizi Julius Kateregga, abadde yayisae olukungaana luno akwatiddwa abebyokwerinda nebamutwala mu kifo ekitanaba kutegerekeka.

Kati omumyuka womukulu wabayizi Judith Nalukwago, agambye nti Kateregga bamukwatidde mu bitundu bye Kamokya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *